LWALI LUKULU
by Kyagambiddwa Joseph
1. Lwali lukulu Mapeera mu Buganda sso okugoba e Ntebe.
Waaliwo ekikuuno mu nnyanja bwe yavaamu olwo lw’agoba ettale.
Lyayatikamu eryato mwe yatuula era Lyakutukamu x2.
Waaliwo ekikuuno mu nnyanja bwe yavaamu olwo lwagoba ettale.
Tulaba kuki aleese omumuli omutangaavu, omugenyi laba omweru mwogeza kisa x2.
Lyayatikamu eryato mwe yatuula era lyakutukamu x2.
2. Lwali lwa ssanyu Mapeera lwe yasooka olwo okusoma Emissa.
Waaliwo Emiranga sitaani gye yakaaba nga olw’okutya alabye!
N’emukwasibwa Maria bwe ya wongwa Ensi n’emutonerwa x2.
Waaliwo emiranga sitaani gye yakaaba nga Olw’okutya alabye!
Nnyina Lugaba mwene n’emukwasibwa abeere mutakabanyini Yezu gw’akulembeza x2.
Lyayatikamu………………………………………………….x2.
Liturgical Hymns for Uganda Martyrs‘ Day Celebrations at Namugongo I 3rd June 2020 | ORDO MISSAE
- 57 -