0% found this document useful (0 votes)
112 views10 pages

7TH Sept

The document contains a series of religious songs and prayers in Luganda, expressing themes of faith, gratitude, and divine power. It emphasizes the importance of unity among believers and calls for God's protection and blessings. The text also includes invocations to Mary and Jesus, highlighting their roles in intercession and support for the faithful.

Uploaded by

Raymond Ray
Copyright
© © All Rights Reserved
We take content rights seriously. If you suspect this is your content, claim it here.
Available Formats
Download as PDF, TXT or read online on Scribd
0% found this document useful (0 votes)
112 views10 pages

7TH Sept

The document contains a series of religious songs and prayers in Luganda, expressing themes of faith, gratitude, and divine power. It emphasizes the importance of unity among believers and calls for God's protection and blessings. The text also includes invocations to Mary and Jesus, highlighting their roles in intercession and support for the faithful.

Uploaded by

Raymond Ray
Copyright
© © All Rights Reserved
We take content rights seriously. If you suspect this is your content, claim it here.
Available Formats
Download as PDF, TXT or read online on Scribd

PRELUDE: MUBE BAGUMU

1. Timutya nga abo abazigu bali abayigganya mwe abayigganya mwe


Timutya nga abo abazigu bali abawalana mmwe abawalana mmwe
Timutya nga abo abazigu bali abayigganya mmw abayigganya mmwe

Ekidd: Muba nga bagumu, muba nga bagumu, mubanga bagumu


Nange bampalana mubanga bagumu nange bampalana.
Mbanyweza nze Mukama wammwe mmwe,
ensi eri bakkabya eri badoobya olw’okuba nze.
Olutalo nalulinya ko bangi bangoberera
nammwe kwe musimbye munywere nnyo

2. Timutya nga abo abazigu bali, mube bagumu


Timutya nga abo abzigu abo babawalana
Oluusi batta ne balowooza nti babamalawo
Sso muli bangi olw’amaanyi Katonda g’abawa
Nze nnabasuubiza nti ndibaweera bye munaddamu
Bwe baba babatutte mu kkomera eyo tuliba wamu.

3. Bali batwala mu kkomera olw’okubeera nze, Kyebaakola nze kye balikola nammwe.
Balibayigga ne mudooba olw’okubeera nze, ‘’
Balibatwala ne muttibwa olw’okubeera nze, ‘’
Muliba bajulizi ne mwewaayo olw’okubeera nze, ‘’

4. Laba mbagamba nti mbagamba bali new batta tibatta mwoyo


Mube bagumu
Laba mbagamba nti; mbagamba: Tibalina buyinza bwa kutta mwoyo timubatya
Laba ali omu ati: Katonda y’alina obuyinza, Mukama yekka mumutye nnyo

5. Alinyikira n’atuuka ku nkomerero (y’alilokoka), Tufube abange Omukama atugamba


Alinyikira n’abonaanona nga taddirira y’alirokoka, “
Alinyikira, alinyikira n’atuuka ku nkomerero y’alilokoka. y’alilokoka

PRELUDE: MUJJE MUWULIRE

Mujje muwulire, mujje muwulire abange.


Mukama katonda by’akoze enkumu, nze nja kunyumya
Ebinene by’akola Katonda.
Nze nja kunyumya, nze mja kunyumya by’akolera omwoyo gwange,
Nze nja kunyumya.
Nga bikuuno Mukama Katonda by’akoze!
Mujje mbanyumize bikuuno bye! Mujje mbanyumize bikuuno bye
Mujje muwulire bwe nawanjaga nze Mukama Katonda
Ya mpulira n’amponya mugulumiza nnyo eyampulira mazima Katonda
Nakati muwaana sirimuleka Katonda wange,
Omwoyo gwange kagukwebaze Amawanga gonna mweyanze,
mwesiime musanyukire mu Katonda ensi ye yonna eyimbe ng’eddiza
Katonda ettendo erisukkiridde egambe nti:
Bisamaaliriza nnyo, bisamaaliriza nnyo by’akola Katonda,
n’abalabe bo ne bakusuutasuuta olw’amaanyi go.

Oliwa buyinza. Ensi yonna yonna ekusinze,


ensi yonna yona ekusize, ensi yonna yonna
evuname ekusinze eyimbe erinnya lyo Musama wange
Oliwa buyinza oliwa buyinza nnyanja yafuulibwa lukalu
Oliwa buyinza ssebo, oliwa buyinza twagusomoka omugga bigere bias
Oliwa buyinza ssebo, oliwa buyinza ffenna tweyagalira mu ggwe.
Oliwa buyinza oliwa buyinza. Agafuga amayanja gonna,
Oliwa buyinza agafuga amawanga gonna, oliwa buyinza.
Abajeemu bave mu kwepanka
Ojja kubawemmenta tebalutonde Mukama oliwa buyinza
Ojja kubabeeranga babe bulungi Mukama oliwa buyinza

Mmwe mugambe nti: Ddunda by’okola bya magero.


Nubunyise wonna ettendo lye suffu.
Mujaguze mu Katonda. Yee mumanyise wonna by’akoze bisuffu
Yee muyimbire mmwe Katonda, omwiyo gwange yaguteekamu obulamu,
Kigere kyange ye yakigumya obutatagala. Nayingira ewuwo nayingira,
Nayingira ewuwo natambira. Natambira. Mu nnyumba ya kitange nayingira
N’atambira n’ebyokye nevuddemu. Byeneetema okutuusana byatula. Byeneetema ndayidde
Ndi bituusa, ndayidde ndi bituusa ndayidde ndi bituusa, ndayidde ndi bituusa Mukama w’oli
ng’ompamirira, ng’ompanirira

PRELUDE: NNYAFFE YAMBA (Fr.Expedito Magembe)

Ekidd.:Ggwe Nnyaffe Omuyinza – Ggwe Nnyaffe,Nnyaffe ow’ekisa.


Ggwe Nnyaffe Omuyinza – Maria tuyambenga.

1.Bikira Maria Ggwe Nnyaffe omwagalwa


Kuuma yamba ffe abaana bo.
Bikira Maria Ggwe Nnyaffe omwagalwa
Tuutuno tuyambe tuli baana bo.

2.Bikira Maria Ggwe Nnyaffe omwagalwa


Kuuma Uganda etebenkere.
Bikira Maria Ggwe Nnyaffe omwagalwa
Tusabire ensi eno etebenkere.

3.Bikira Maria nga bang iabavuma


Baagala eddiini mbu bagizise.
Nnyaffe twagaze Kristu Omulokozi
Taasa eddiini etinte.

4.Bikira Maria Nnyaffe tusaba kino


Tutaase endwadde etumalawo.
Tusaba tuyambe Nnyaffe Ggwe ow’ekisa
Tusabire tuyambe tuggwaawo.

5.Bikira Maria Nnyaffe tukudaagira


Twagaze Omukama tubeere babe.
Obulamu nga bukomye obw’eno obw’ekiseera
Tuwungule otutuuse mu bw’olubeerera

ENTRANCE: MUJJE TWEBAZE OMUKAMA

Mujje twebaze Omukama akola ebyamagero


Mujje twebaze Omukama mwenna y’oyo ow’ekisa asinga

1. Erinnya lya Mukama muliyimbe; Asaasira Mukama asaasira


Abantu b’ensi eno mumutende; Asaasira Mukama asaasira owaffe
2. Katonda bye yakola bya kitiibwa Asaasira Mukama asaasira
Eggwanga lye Mukama y’ali yamba; Asaasira Mukama asaasira owaffe
3. Alamula Mukama wa buyinza; Asaasira Mukama asaasira
Akkakkanya abalabe ng’abatowaza; Asaasira Mukama asaasira owaffe
5. Ankuumira obulamu ng’abutaasa; Asaasira Mukama asaasira
Annambika ebigere ng’abinyweza; Asaasira Mukama asaasira owaffe
4. Mmw’ab’amawanga mugulumize oyo
Ettendo lye Mukama mu liyimbe
6. Watugeza ayi gw’omulungi;
Netukirako ffeeza mukabiga
7. Mbanyumiza Omukama mw’abalungi
Omwoyo gw’omunaku y’aguyamba
8. Ngulumiza Omukama omulungi
Atangobye Mukama nze musenze

KYRIE: JUBILATE
Gloria – EMIREMBE N’ESSANYU

Bass; Ekitiibwa kibe mu ggulu eri Katonda


Chorus; Emirembe n’essanyu essa bikke mu nsi yonna yonna,
Mu b’omwoyo omulungi, Katonda gw’ayagadde atyo, Emirembe wonna

1. Olw’ekitiibwa kyo Mukama Mukama wonna tukusinza,


Tukugulumiza tukutenda weebale byonna by’okoze.

2. Mu ggulu Katonda ggwe Kabaka waffe wonna tukusinza,


Taata Katonda tukutenda n’essanyu olw’obuyinza bwo.\

3. Mukama waffe Omwana wa Katonda ggwe Yezu Kristu,


O Kaliga aka Katonda Mwana Katonda gw’alina.

4. Ggwe aggyawo ebibi by’ensi saasira ffe tusaasire.


Ggwe aggyawo ebibi by’ensi wuliriza okwegayirira kwaffe.

5. Ggwe atudde ku ggwa ddyo gwa Patri tusaasire (2)

6. Olw’okuba ggwe wekka omutukirivu ggwe Kabaka wekka


Olw’ekitiibwa kyo Yezu Kristo osukulumye wonna wonna.

7. Nga muli wamu n’omutiibwa oyo, Mwoyo Mutuukirivu,


Mu kitiibwa kya Katonda Patri Amiina Emirembe.

MEDITATION: NJA KUYIMBA

Nja kuyimba nga ekisa ky’Omukama,


Nkutendereze nkwebaze ggwe wanonda.
Nnafuuka mwana wo mu nyumba nze gy’oleka ebyekisa,
Mu mwana wo Yezu nze mu maaso go ndi mwana nuganzi,
Mu bwakabaka bwo olwoyo nange bwentyo nnafuuka musika

1. Ng’oli wakisa nyo Mukama, ddala


wamma kyewunyo Ggwe okuganza nze kyava ku ki?
Ssebala butukirivu ….a…..a……a…….
Mu maaso go ssetenda kubwange nze ani?
Sso ggwe nolonda mbeere mwana wo ate muganzi
Waggya mu kisa kyo Lugaba, ggwe nojja n’onnonya.

2. Nkwebaza obutasa Mukama leka gw’oganza nyimbe


Nga ndowoza ggwe byonkolera By’olaga bisukirivu byamannyi
Bikkuuno byo bingi nyo, okulojja tebigwayo.
Anti abakweyuna obayamba nooba essanyu lyabwe.
N’okubagiza abanaku abo boona nobajjuna.

3. Ddunda omwagazi ng’otegeka ntereza zo


Lugaba Zonna zibe nga bwolonda
Tozibirwa n’akatono …a…..a…..a…….
Anaakugana yani muyinza teesanga
Tusa byotesa oli wa buyinza ggwe mutonzi
Nkusaba kimu ku nnyweza ompe okukiriza.

4. Omberedde wa kisa nyo okuva obuto bwange,


Nebwenali sinabawo
Ekisa kyo nekintegekera ekkubo lyange
Mu kyo ggwe mwe wagya ne mbawo.
Ne munsi munno nga namaga Ongobereza amaaso ag’ekisa,
Natendya ntya? Nalogya ntya? Leero nayimba ntya?

5. Sso ne bwe nkuyimba sikoma,


akulojja bw’atyo era Omutonzi ggwe taakumale.
Ssebirungi ossukulumye, wekka omu Kitiibwa kyo kijudde,
muyinza ggwe byonna.
Taata osaana ettendo n’omwana wo oyo omu Kigambo
Nga muli kimu ne Mwoyo leero n’ebulijjo.

GOSPEL: EKIGAMBO KYOMUKAMA

Ekigambo kyomukama kyikyo kiggya, tuguddewo emitima gyaffe


Yezu Mulungi x3
Yezu Mulungi, Yezu Atweewa, Naffe tumweewe
Yimba Alleluia x3

PETITIONS: GWE ATUKUTIRA


Ggwe atukuutira tukwesige, nti musabe muliweebwa
Munoonye Ddunda tuzze yamba abantu bo

OFFERTORY: KWE KUSIIMA KWANGE (TAATA NZUUNO)

1. Taata nzuuno ndeeta okusiima kwannge (leero nange) nsiima taata kandeete ebirabo byange
(biibyo) byandibadde bingi sso ebizze taata byebyo (sso taata) tebisaana w’Oli kankusabe
amale gatwala (biibyo) bye bivudde mu ntuuyo byompa mulimu ennusu zenkoledde
kambikuddize osaanira nnyo kwe kusiima kwange (nange) gwe katonda wange omuganzi
ssibi saanira byonkoledde okukwebaza nnaakuwaki gwe bitwale byonna.
2. Mban’ebingi sso oluusi ne sitoola (naye taata) ne nkwesamba nga gwe ompa ebirungi byonna
(sso nga) nnandibadde wanze ng’onkuumye weebale nnyo (ng’onkuumye) ewuwo onjagadde
kansituke nkutonere era (taata) ebisuubulwa bye nkuwadde n’ebimu ssebo bye ssireese bye
birabo byange ebitajja gwe bisiime kyokka (nange) ekisonyiwo nkusaba ompe lwe
ssikwebaza lwe ssireese mu butatona nswala na nnyo obutadda gy’oli.
3. Ndeese eviini n’omugaati biibino era (byonna taata) byava gy’oli bye watonda taata byebyo
(biibyo) bizze n’oluyimba nange omuzinyi kwendi (olwekyo) biggyeyo ekitiibwa biggulire
omutima gwange (anti) okukwebaza ddembe lyo mpa n’okufa ssebo kwe mpiseemu,
kankuwe bino bye nfunyewo tobigaana kyokka (taata) gwe wabibaza n’obituusa n’obiwa
enkuba byabala nnyo, bye nasimba bye bikutuuse gwe katonda wange
4. Nsiima taata mpa omwoyo ogutasinda (njige taata) byompadde ebyo nze nsiime obutanyiiga
(nange) njagala nkutuuke ng’omu kubaakusenga (nzije gyoli) owuwoomulonde mbikkirire
obulamu bwange bwange (taata) ebibyo bino bye nkuwadde ntaddemu nange essaala z’ensi,
kanfube nkole nkusaba ompe ku birungi byonna (n’abo), ba Malayika ababireese mwana wo
ssebo n’abituusaba nzijukire okwanjulwanga ngabane kubyonna.
Offertory – TYERWA WAN WATYERO

1. Tyerwa wan watyero iri,


Wonwa game ki yom cwiny.
Watyero mugati……..
Watyero vini………...
Watyero cente……….
Yao yao yao wawoto yao yao yao,
Watyero tyer maleng ki Rubanga won.
Wun lodongo………...
Wun awobe…………..
Wun anyira…………...

2. Tyerwa wan watyero iri,


Wonwa game ki yom cwiny.
Watyero camwa……..
Watyero cwinywa……
Watyero ticwa.……….
Yao yao yao wawoto yao yao yao,
Watyero tyer maleng ki Rubanga won.
Wun lonyondo………...
Wun lotion...…………..
Wun lokristo…………...

3. Tyerwa wan watyero iri,


Wonwa game ki yom cwiny.
Tyer lotion……………...
Tyer awobe……………..
Tyer pa anyira…………..
Yao yao yao wawoto yao yao yao,
Watyero tyer maleng ki Rubanga won.

Offertory: NZE NGENDA NTYA

Nze ngenda ntya eri omukama,


Ddala ddala ngenda ntya
nga sirina kye mmutonedde,
Kamutonere nze bye nnina
Ayi mukama bikkirize.

1. Ayi mukama ndi mwanawo, kyokka ayi mukama nkujeemera,


Ne nkusaba kati onziriremu, nze ayi mukama aboneredde.
Omugaati gwo gwe ndeese ng’era n’eviini ngitaddeko,
Bikutambirwe olwaleero mu Yezu Kristu omwanawo.

2. Katukwebaze ggwe by’otuwa, ffenna abaganzibo abakumanyi,


Byonna ayi mukama biva wuwo, era ayi mukama bidda wuwo.

3. Ebyo ebibala bye tulina, ssaako ebisuubulwa bye tugula,


Byonna ayi mukama biva wuwo, kuba ayi mukama ggwe katonda.

4. Watutonda n’otuteekawo, n’ebyo ayi mukama bye tulina,


Era ayi mukama tukimanyi, byonna ggwe by’ofuna obizzaawo.

5. Katukwebaze bye tulina, byonn ayi mukama n’obulamu,


Bye tutalina tubisabye, byonna bitufuule ffe abaana bo.

6. Ekirabo ekisembayo, ye ggwe ayi mukama abaana bo,


Emitima kagibe gigyo, ffenna nga twagala by’oteesa.

SANCTUS: MUTUKIRIVU OSINDE

AGNUS: ST. CHARLES MASS

COMMUNION: NNEYANZA MUKAMA

1. Nga kye wuunyo Yezu atuuse


Azze leero ankyalire;
Onneewadde obemunze
Ow’ekisa,Yezu atuuse!

2. Yezu lw’ojja omwange ondiisa


Mubiri n’ Omusaayi gwo,
Ndi mwonoonyi, sisaanira
Ku mbaga yo entukuvu.

3.Nga kyewuunyo: nfuuse nju yo


Mw’oyingidde lw’ ozze leero
Byonna bibyo, Yezu, twala
Kyenkusaba: Tova mwange!

4.Nga nneegomba Yezu, ontwale;


Njigiriza ebigambo byo
Ddaaki olintuusa gy’oli
Ku mbaga yo ndiba naawe!

NNGAMBE NTYA

Ekidd.: Nngambe ntya,Katonda wange,ozze otya


Kiwamirembe otuuse
Ozze otya Katonda wange ozze otya
Kiwamirembe otuuse.

1.Ovudde mu ggulu n’ojja Katonda wange,


N’ontunuuli ra n’ojja okundaba
Okundaba nze bwe nkaba, omunkuseere
N’onzikiriza n’ojja okundaba.

2.Olw’ekisa nze kye ntenda, Katonda wange


Walese eggulu n’ojja onkyalire
Omwoyo gwange gw’onoonya okubeeramu
Gwakujeemera dda nnyo, onsaasire.

3.Ka nkwebaze ku lwaleero okundaba


Toyabulira n’omu akwesiga:
Ab'eggulu n’ab'oku nsi ka twejage,
N’oluyimba olw’eggwoowo, tumwebaze.

4.Ggwe Nnannyini ggulu n’ensi mutalabwa


Kye nkusuubiza sijja kukugoba,
Omwoyo gwange olwaleero gugwo ddala
Tonzikiriza n’onta okukuleka

Post Comm: KASOOKA NZAALIBWA

Kasooka nzaalibwa Mukama wange ndayidde,


Kasooka nzaalibwa Mukama wange,
Kasooka nzaalibwa nyweledde ku Ggwe Mukama,
Muyambi wange; wannyamba, wankuuma, wandabirira,
Tonnsulirira Mukama wange ompaanirira,
Ndijja amaanyi go, oli wa buyinza osaanakweggala.
Abalabe bange banjogerako obubi,
Nkugambye bannimisa, bannekobera nnyini baduula.
Wulira: Ddunda amwabuliidde,
Tumuwondere, tumukwate.
Amwabuliidde anamutasa,
Leero ava wa? Ava wa? Ava wa?
Anamutasa anava wa?
Mwaabuliidde, mwaabuliidde.
Ye Ggwe, Ye Ggwe,
Mwaabuliidde Ggwe n’nda Mukama wange,
Ggwe n’nda Mukama wange,
Ggwe kiggo ekinyweevu,
Ggwe kidddukiro kyange,
Ggwe lwazi lwange ndokola, ndokola.
Nsika mu mikono gy’omubi, oyo anyigirizza,
Nzuuno Ssebo, baswaale abakatagga.
Yanguwa okunnyamba ng’ompaanirira,
Mukama wange, Katonda wange.
Jjangu abonaabona eri nze akulumirwa,
Mu Ekaristi mwembeera.
Ndiyimba, nditemba, ndirombajja obuyinza bw’Omukama mwagala.
Nditemba nennyumya obutufu bwo wekka Mukama busuffu.
Wanjigirizza okuva obuto bwange,
N’oguno gwaka, ndajja ebikuuuno byo.
Anti tonjabulira, oli wa kisa.
Ayi Katonda ndikugulumiza ku ntongooli,
Ndikuyimbira ku nnanga Ssebo omutibwa.
Giri jaganya emimwa bwe ndiba nkuyimba,
Ndiba nkutendereza,
N’olulimi lwange bulijja lunitendereza.
Abanjaagaliza obubi oba swaaza,
Abambonyaabonya nabo baswadde.
Naye nze ndokola, ndokola, ndokola, ndokola, ndokola.

EXIT: NNABERANGA MU MUTIMA GWA MARIA

Nnaabeeranga mu mutima gwa Maria omuddabiriza,


Nnaabeeranga mu mutima gwa mmange
Nnaabeeranga mu mutima gwa Maria omuddabiriza,
nnaabeeranga mu mutima gwa Mmange. Maria
Nnabeeranga mu mutima gwa Mmange.
1 a) Omutima gwa Nnyaffe Maria, gwa tegekebwa Omukama
Ye nnyumba ya trinita entukuvu, ejjudde enneema
b) Omutima gwa Nnyaffe Maria, gwa gunjulwa Omukama
naguyigiriza okukola nga Katonda kyayagala
c) Omutima gwa Nnyaffe Maria, gwafumitibwa ekitala
naguyigiriza ebikusike ku kyama ky’omusalaba
d) Omutima gwa Nnyaffe Maria, gwatukwasibwa Omukama
okusobola okuwona omulabe mwetubanga twekukuma

Maama, omwanawo nzuuno, nzuuno. Maama, nkusaba onnyambe.


Byesimanyi bingi, Maama nkusaba mbiyige.
Olusi akasiiriseka lema, Yesu nesimuwuliriza.
Ndabye ne nneekolera ebyange,so si Katonda ky’ayagala.
Ndikolantya okuddaabiriza, Omukama gwe nnyinza Ntyo?
njagala mbeere mu ggwe,
Onngunjulire mu mutima gwo, Maama.

Mwe nnaabeeranga mu mutima gwa Maama,


Mwe nnaabeeranga ennaku zonna.
Mwe nnaabeeranga mu mutima gwa Maama,
Maria, nkusaba onnyambe.

Mwe mbanjigira okunoonya Omukama mu byonna,


Nnaabeeranga mu mutima gwa mmange
Mwe mbanjigira okuzuula Omukama mu byonna,
Nnaaberanga mu mutima gwa mmange
Mwe mbanjigira okugunjulwa Omukama mu byonna
Nnaabeeranga mu mutima gwa mmange.

You might also like